Page 10 - AKASISIMUKA APRIL
P. 10
April 10
Bya Mubiri Oba Bya Mwoyo?
Kubanga okulowooza kW 'omubiri kwe kufa; naye okulowooza kW 'omwoyo bwe bulamu
n 'emirembe -Abaluumi 8:6
Abatuuze b'omu Ssaza ly'e Fermanaga eriri mu Ayirirandi, ebirowoozo byabwe
tebyatwalibwa olw'ezimu ku nteekateeka ezaakolebwa okutuuza olukuljoaana
Iw'ebyobufuzi olw'ensi 8 ezaakula edda (G-8) mu kabuga kaabwe. Ekitundu kyabwe ko
n'ebitundu ebirala ebyali bikifaanana byali mu kuyita mu mbeera enzibu ez'ebyenfuna
olw'okukosebwa okw'amaanyi okwaleka ekitundu nga kigwiridde ddala wansi. Kale
olw'okwagala okuwa ekifaananyi ekirungi eri abakungu abaakyalayo, amaduuka
baagasiiga langi era ne bagateekako n'ebipande ebinyirira obulungi. Edduuka omutali
kantu nga litimbibwa lirabike ng'erijjuddemu ebyamaguzi. Eyali bbuca yakyusibwa
okulabika ng'ejjuddemu ebisambi by'ennyama nga n'emirimu gigenda bukwakku.
Amazima gali nti, ekibuga kyali mu mbeera mbi. Endowooza eraga nti buli kintu kyali
bulungi mu Ayirirandi mu kiseera ekyo bwali bulimba obuwedde emirimu.
Mu Bayibuli, Katonda atulaga ebintu nga bwe biri ddala. Amazima gayinza
okulabika ng'agatasanyusa, naye Katonda yandyagadde tusanyukire amazima agakaawa
okusinga obulimba obusikiriza. Mu butonde, ebirowoozo ebibi bisikirizibwa bintu
ebinakuwaza na kibi wabula Katonda mwesigwa okutubuulira nti okuteeka ebirowoozo ku
bintu eby'ensi, ebitali birongoofu muvaamu kufa. Bangi abaatula okukkiriza kwabwe mu
Katonda abatayinza kwawulibwa ku abo abaabula. Obulamu obutaggwaawo buweebwa
abo abatadde ebirowoozo byabwe ku by'Omwoyo. Pawulo agamba nti okuwaayo
ebirowoozo byo eri Omwoyo Omutukuvu kireeta bulamu na mirembe. Wadde nga ensi
esikiriza bulungi nnyo, mu yo temuli ssuubi lya bya mwoyo ggwe okuteekako obulamu
bwo ku bintu eby'ensi. Okujjuza ebirowoozo byo n'ebintu ebinakuwaza, ebintu eby'ensi
kireetera omuntu obutasaanira ggulu so era kireetera omuyigirizwa wa Yesu obutasaanira
kwetaba mu lubu Iw'abanunule. Kale mukifo ky'okubeera Omukristaayo omwereere,
anyirira obunyirizi ku ngulu, ekisuubizo kya Katonda kwe kujjuza okubeerawo kwe mu
ffe era n'okufuula abaana be abakkiriza Yesu mu mazima.
Omulimu gw'Omwoyo Omutukuvu mu bulamu bw'omuntu kwe kufuula omuntu oyo
alowooleza mu byomwoyo. Bw'omukkiriza okukikola, Katonda alikyusa omutima gwo
era n'ebirowoozo. Alikuwa okwagala ebyo Katonda by'ayagala era akufuule omwana mu
maka ag'omu ggulu.